Numbers 1:5-16

5 a“Gano ge mannya g’abasajja abajja okubayambako:

“Aliva mu kika kya Lewubeeni ye Erizuuli mutabani wa Sedewuli;
6mu kya Simyoni ye Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi;
7 bmu kya Yuda ye Nakusoni mutabani wa Amminadaabu;
8 cmu kya Isakaali ye Nesaneri mutabani wa Zuwaali;
9 dmu kya Zebbulooni ye Eriyaabu mutabani wa Keroni.
10 eOkuva mu baana ba Yusufu:
mu kya Efulayimu ye Erisaama mutabani wa Ammikudi;
mu kya Manase ye Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli.
11Aliva mu kika kya Benyamini ye Abidaani mutabani wa Gidyoni;
12 fmu kya Ddaani ye Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi;
13 gmu kya Aseri ye Pagiyeeri mutabani wa Okulaani;
14 hmu kya Gaadi ye Eriyasaafu mutabani wa Deweri;
15 imu kya Nafutaali ye Akira mutabani wa Enani.”

16 jAbo be basajja abaalondebwa okuva mu kibiina, nga be bakulembeze ab’ebika bya bajjajjaabwe. Abo nga be bakulu b’ebika bya Isirayiri.

Copyright information for LugEEEE